Job 37

1“Kino kikankanya omutima gwange,
ne gubuuka okuva mu kifo kyagwo.
2 aWuliriza okubwatuka kw’eddoboozi lye,
n’okuwuluguma okuva mu kamwa ke.
3Asumulula eggulu ne limyansa wansi w’eggulu wonna,
n’aliragira ligende ku nkomerero y’ensi.
4Kino oluggwa, okuwuluguma kw’eddoboozi lye kwe kuddako,
abwatuka n’eddoboozi lye ery’omwanguka,
era eddoboozi lye bwe liwulirwa,
tewabaawo kisigala nga bwe kibadde.
5 bEddoboozi lya Katonda libwatuka mu ngeri ey’ekitalo;
akola ebintu ebikulu ebisukka okutegeera kwaffe.
6 cAgamba omuzira nti, ‘Ggwa ku nsi,’
ate eri enkuba etonnya nti, ‘Ttonnya nnyo.’
7 dEmirimu gya buli muntu giyimirira,
buli omu n’alyoka amanya amaanyi ga Katonda.
8 eEnsolo ne ziryoka zessogga empuku zaazo,
ne zigenda zeekukuma.
9Omuyaga ne gulyoka guva mu nnyumba yaagwo,
n’obunnyogovu ne buva mu mpewo ekuŋŋunta.
10 fOmuzira ne guva mu mukka gwa Katonda
n’amazzi amangi ne gekwata kitole.
11 gEbire abijjuza amatondo g’amazzi,
n’asaasaanya okumyansa kw’eggulu.
12 hByetooloolatooloola nga y’abiragira,
ne bituukiriza byonna by’abiragira,
ku nsi yonna okubeera abantu.
13 iBwe kuba kubonereza, oba okufukirira ensi
oba okulaga okwagala kwe, atonnyesa enkuba.

14“Wuliriza kino Yobu;
sooka oyimirire olowooze ku bikolwa bya Katonda eby’ettendo.
15Omanyi Katonda engeri gy’alagiramu ebire,
n’aleetera eggulu okumyansa?
16 jOmanyi engeri ebire gye bituulamu mu bbanga,
amakula g’emirimu gy’oyo eyatuukirira mu kumanya?
17Ggwe alina ebyambalo ebibuguma,
ensi bw’eba ng’ekkakkanyizibbwa embuyaga ez’obukiikaddyo,
18 koyinza okumwegattako ne mubamba eggulu,
eryaguma ne libeera ng’endabirwamu ensanuuse?

19“Tubuulire kye tunaamugamba;
tetusobola kuwoza nsonga zaffe gy’ali olw’ekizikiza kye tulimu.
20Asaanidde okubuulirwa kye njagala okwogera?
Eriyo omuntu yenna ayinza okusaba okumalibwawo?
21Kaakano tewali n’omu ayinza kutunula mu njuba,
olw’engeri gy’eyakamu ku ggulu,
ng’empewo emaze okuyita, n’eyelula ebire.
22Mu bukiikakkono evaayo zaabu;
Katonda ajja mu kitiibwa eky’amaanyi.
23 lAyinzabyonna tatuukikako era agulumidde mu maanyi,
mu bwenkanya bwe era ne butuukirivu bwe, tawaliriza muntu yenna.
24 mNoolwekyo abantu bamutya,
takitwala ng’ekikulu olw’abo abeerowooza okuba abagezi mu mitima gyabwe.”
Copyright information for LugEEEE